Amos 3

Okulabula Abantu ba Isirayiri

1 aMuwulire ekigambo kino Mukama ky’aboogerako mmwe abaana ba Isirayiri, ennyumba yonna gye naggya mu Misiri.

2 b“Mu bantu bonna abali ku nsi,
mmwe mwekka be nalonda.
Kyendiva mbabonereza
olw’ebibi byammwe byonna.”
3Abantu ababiri bayinza okutambulira awamu
wabula nga bakkiriziganyizza?
4 cEmpologoma ewulugumira mu kisaka
nga terina muyiggo?
Empologoma ento ekaabira mu mpuku yaayo
nga teriiko ky’ekutte?
5Akanyonyi kayinza okugwa mu mutego
nga tewali kikasikirizza?
Omutego gumasuka
nga teguliiko kye gukwasizza?
6 dAkagombe kavugira mu kibuga
abantu ne batatya?
Akabenje kagwa mu kibuga
nga Mukama si y’akaleese?

7 eNaye ddala Mukama Katonda takola kintu kyonna
nga tasoose kukibikkulira
baweereza be, bannabbi.

8 fEmpologoma ewulugumye,
ani ataatye?
Mukama Katonda ayogedde
ani ataawe bubaka bwe?

9 gLangirira eri ebigo by’e Asudodi
n’eri ebigo by’e Misiri nti,
“Mujje mukuŋŋaanire ku nsozi z’e Samaliya
mulabe akajagalalo akanene akali eyo
n’abantu be nga bwe bajoogebwa.”

10 h Mukama agamba nti, “Abantu abajjuzza
ebigo byabwe n’ebintu ebinyage,
tebamanyi kukola kituufu.”
11 iNoolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Omulabe alirumba ensi,
n’amenyaamenya ebigo byo eby’amaanyi
era n’abinyagulula.”
12 jBw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ng’omusumba bw’agezaako okutaasa endiga ye okuva mu kamwa k’empologoma
n’asikayo amagulu abiri obubiri n’ekitundu ky’okutu,
bwe batyo Abayisirayiri bwe balinunulibwa,
abo abatuula mu Samaliya
ku nkomerero y’ebitanda byabwe
ne ku bitanda byabwe mu Ddamasiko.
13 k“Muwulirize kino era mulumirize enju ya Yakobo yonna,” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.

14 l“Ku lunaku lwe lumu lwe ndibonereza Isirayiri olw’ebibi bye,
ndisaanyaawo ebyoto by’e Beseri,
n’amayembe g’ekyoto galisalibwako
ne gagwa wansi.
15 mEra ndisaanyaawo ennyumba ebeerwamu mu biseera eby’obutiti,
awamu n’ennyumba ebeerwamu mu biseera ey’ebbugumu;
era ndimenyaamenya n’ennyumba ezayolebwa n’amasanga,
ne nsanyaawo n’embiri,”
bw’ayogera Mukama.
Copyright information for LugEEEE